Exodus 18:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'atuma eri Musa ng'agamba nti: “Nze Yeturo mukoddomi wo, nzija gy'oli: nzize ne mukazi wo ne batabani be bombi bali naye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesero yali amutumidde nti, “Nze Yesero mukoddomi wo, nzija okukulabako. Ndi ne mukyala wo ne batabani be bombi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba Musa nti, “Nze mukoddomi wo Yesero, nzize gy'oli ne mukazi wo, n'abaana be bombi wamu naye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'atumira Musa nti: “Nze Yetero, kitaawe wa mukazi wo, ne batabani bo bombi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'agamba Musa nti Nze mukoddomi wo Yesero nzize gy'oli ne mukazi wo n'abaana be bombi wamu naye.