Exodus 18:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'afuluma okusisinkana mukoddomi we, n'avunnama, n'amunywegera, ne balamusaganya ne bayingira mu weema.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’afuluma n’agenda okwaniriza mukoddomi we; n’akutamako ng’amulamusa, n’amugwa mu kifuba. Ne balamusaganya, n’oluvannyuma ne bayingira mu weema.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'avaayo okusisinkana mukoddomi we, n'akutama, n'amunywegera; ne babuuzagana nti, “Otyanno?” Ne bayingira mu weema.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'avaayo okumusisinkana, n'akutamya ku mutwe okumussaamu ekitiibwa, n'amunywegera, ne babuuzagana nti: “Otya nno?” Ne bayingira mu weema.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'avaayo okusisinkana mukoddomi we, n'akutama, n'amunywegera; ne babuuzagana nti Otyanno? ne bayingira mu weema.