Exodus 18:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'anyumiza mukoddomi we byonna Omukama bye yali akoze Faraawo n'Abamisiri ku lwa Yisirayeli, n'ebizibu byonna ebyali bibatuukiridde mu kkubo, era ng'Omukama bwe yabawonya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’anyumiza mukoddomi we ebyo byonna Mukama bye yakola Falaawo n’Abamisiri ng’abalanga Isirayiri; n’ebizibu ebyabatuukako mu lugendo lwabe, ne Mukama nga bwe yabibawonya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'abuulira mukoddomi we byonna Mukama bye yakola Falaawo n'Abamisiri ku lwa Isiraeri, ebizibu byonna ebyababeerako mu kkubo, era nga Mukama bwe yabawonya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'anyumiza Yetero byonna Mukama bye yakola kabaka w'e Misiri n'abantu be, okununula Abayisirayeli. Era n'amunyumiza ebizibu byonna, ebyabatuukako nga bali mu kkubo, era nga Mukama bwe yabawonya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'abuuiira mukoddomi we byonna Mukama bye yakola Falaawo n'Abamisiri ku lwa Isiraeri, ebizibu byonna ebyababeerako mu kkubo, era Mukama bwe yabawonya.