Exodus 19:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku Abayisirayeli kwe baawereza emyezi esatu bukya bava mu Misiri, ne batuuka mu ddungu Sinayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwezi ogwokusatu abaana ba Isirayiri nga bavudde mu Misiri, ne batuuka mu Ddungu lya Sinaayi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olusooka mu mwezi ogwokusatu, nga abaana ba Isiraeri bamaze okuva mu nsi ey'e Misiri ne batuuka mu ddungu lya Sinaayi
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne bava e Refidiimu, era ku lunaku olubereberye olw'omwezi ogwokusatu okuva lwe baava mu nsi ey'e Misiri, ne batuuka mu ddungu lya Sinaayi, ne basiisira mu maaso g'Olusozi Sinaayi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu mwezi ogw'okusatu oluvannyuma abaana ba Isiraeri nga bamaze okuva mu nsi ey'e Misiri, ku lunaku luli ne batuuka mu ddungu lya Sinaayi.