Exodus 19:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Beetegekere olunaku olwokusatu, kubanga ku lunaku olwokusatu, Omukama ajja kukka ku lusozi Sinayi ng'abantu bonna balaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ku lunaku olwokusatu babeere beetegefu, kubanga ku lunaku olwo Mukama alikka ku lusozi Sinaayi ng’Abayisirayiri bonna balaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
beeteketeeke okutuusa olunaku olwokusatu; kubanga ku lunaku olwokusatu Mukama alikka mu maaso g'abantu bonna ku lusozi Sinaayi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Babe nga beeteeseteese ku lunaku oluddirira olwenkya, kubanga ku lunaku olwo olwokusatu, nja kukka ku Lusozi Sinaayi mu maaso g'abantu bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
beeteketeeke okutuusa olunaku olw'okusatu: kubanga ku lunaku olw'okusatu Mukama alikka mu maaso g'abantu bonna ku lusozi Sinaayi.