Exodus 19:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bakomere okwetooloola olusozi, obagambe nti: ‘Mwegendereze obutalinnya ku lusozi, wadde okukoona ku nsalo zaalwo; buli akoona ku lusozi, awatali kubuusabuusa, wa kuttibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayisirayiri bakugire n’olukomera okwetooloola olusozi, obagambe nti, ‘Mwekuume muleme okwambuka ku lusozi oba okulukwatako we lutandikira. Anaalukwatako ajja kuttibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naawe abantu olibateekera ensalo enjuyi zonna, ng'oyogera nti, ‘Mwekuume, muleme okulinnya ku lusozi newakubadde okukwata ku nsalo yaalwo; buli alikwata ku lusozi, talirema kuttibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bateerewo ensalo okwetooloola olusozi olwo, obagambe nti: ‘Mwekuume, muleme kwambuka ku lusozi, wadde okusemberera ensalo zaalwo. Buli anaasemberera olusozi olwo, ajja kuttibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe olibateekera abantu ensalo enjuyi zonna, ng'oyogera nti Mwekuume, muleme okulinnya ku lusozi newakubadde okukwata ku nsalo yaalwo: buli alikwata ku lusozi, talirema kuttibwa: