Exodus 19:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewabanga alukwatako, wa kukubibwa mayinja oba okukubwa akasaale, ne bwe kiribeera ekisolo oba omuntu, talirama. Eŋŋombe y'ejjembe ly'endiga ennume bw'erivuga n'eddoboozi ery'omwanguka, olwo nga bambuka ku lusozi.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tajja kukwatibwako, wabula ajja kukubirwa ddala amayinja oba kufumitibwa. Omuntu tajja kulama, n’ebisolo tewaabeewo kirama.’ Akagombe bwe kanaamala okuvugira akabanga, olwo abantu ne balyoka bajja awali olusozi. ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensolo yonna oba omuntu yenna alikoma ku lusozi, alittibwa ng'akubibwa amayinja oba okulasibwa n'akasaale; omuntu yenna aleme okumukomako.’ Eŋŋombe bw'erivuga ennyo olwo abantu ne balyoka basemberera olusozi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
K'abe muntu oba nsolo, ajja kuttibwa ng'akubibwa amayinja, oba ng'alasibwa obusaale, awatali kumukwatako.’ Wabula eŋŋombe bw'eneevuga, abantu ne balyoka basemberera olusozi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omukono gwonna guleme okumukwatako, naye talirema kukubibwa mayinja oba kufumitwa; oba ensolo, oba muntu, taliba mulamu: eŋŋombe bw'erivuga ennyo, balisemberera olusozi.