Exodus 19:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe bwakya ku lunaku olwokusatu, ne wabaawo okubwatuka, okwa laddu n'ebimyanso, n'ekire ekikwafu ku lusozi; ko eddoboozi ly'eŋŋombe ery'amaanyi ennyo; mu lusiisira abantu ne bajugumira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ku lunaku olwokusatu ku nkya ne waba okubwatuka n’okumyansa, n’ekire ekikutte ku lusozi, n’eddoboozi ly’akagombe ery’omwanguka ennyo; abantu bonna abaali mu lusiisira n’okukankana ne bakankana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku lunaku olwokusatu, bwe bwakya enkya, ne waba okubwatuka n'okumyansa, n'ekire ekikutte ku lusozi, n'eddoboozi ery'eŋŋombe eddene ennyo; awo abantu bonna abaali mu lusiisira ne bakankana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe bwakya enkya ku lunaku olwokusatu, ne wabaawo okubwatuka kw'eggulu n'okumyansa. Ekire ekikwafu ne kirabika ku lusozi, era eŋŋombe ey'eddoboozi ekkangufu ennyo n'ewulirwa. Abantu bonna abaali mu lusiisira, ne bakankana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku lunaku olw'okusatu, bwe bwakya enkya, ne waba okubwatuka n'okumyansa, n'ekire ekizimbye ku lusozi, n'eddoboozi ery'eŋŋombe eddene ennyo; awo abantu bonna abaali mu lusiisira ne bakankana.