Exodus 19:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olusozi Sinayi lwonna lwali luttunka omukka, kubanga Omukama yali alukkiddeko mu muliro. Omukka nga guttunka kuli ng'omukka oguva mu kabiga. Olusozi lwonna ne lukankana nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olusozi Sinaayi ne lubikkibwa omukka; kubanga Mukama yalukkako mu muliro. Omukka ne gunyooka nga gwambuka ng’oguva mu kyoto, n’olusozi lwonna ne lukankana nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olusozi Sinaayi lwonna ne lunyooka omukka, kubanga Mukama yalukkirako mu muliro; omukka gwalwo ne gunyooka ng'omukka gw'ekikoomi, olusozi lwonna ne lukankana nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olusozi Sinaayi lwonna ne lukankana nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olusozi Sinaayi lwonna ne lunyooka omukka, kubanga Mukama yalukkirako mu muliro: omukka gwalwo ne gunyooka ng'omukka gw'ekikoomi, olusozi lwonna ne lukankana nnyo.