Exodus 19:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Musa nti: “Kkirira olabule abantu, sikulwa nga bawaguza okujja ew'Omukama okulaba, ate abangi mu bo ne bafa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’agamba Musa nti, “Serengeta eri abantu obalabule baleme kuwaguza okujja okutunula ku Mukama, abantu bangi baleme kuzikirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Serengeta, olagire abantu baleme okuwaguza eri Mukama okwekaliriza n'amaaso, abantu bangi baleme okuzikirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'amugamba nti: “Serengeta olabule abantu baleme okubuuka ensalo okujja okundaba, sikulwa nga bangi mu bo bafa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Serengeta, olagire abantu, baleme okuwaguza eri Mukama okwekaliriza n'amaaso, abantu bangi baleme okubula mu bo.