Exodus 19:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'addamu Omukama nti: “Abantu tebayinza kujja ku lusozi lwa Sinayi, kubanga watulabula ggwe wennyini lwe wagamba nti: ‘Komera olusozi okwetooloola era olwawule nti lutukuvu.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’addamu Mukama nti, “Abantu tebasobola kwambuka ku Lusozi Sinaayi, kubanga ggwe wennyini watulagira nti, ‘Muteekeewo akakomera okwetooloola olusozi, lusigale lwokka nga lutukuvu.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'agamba Mukama nti, “Abantu tebayinza kulinnya ku lusozi Sinaayi; kubanga watulagira, ng'oyogera nti, ‘Teeka ensalo okwetooloola olusozi, era olutukuze.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agamba Mukama nti: “Abantu tebajja kwambuka ku Lusozi Sinaayi, kubanga watukuutira nti: ‘Mumanye nti olusozi lutukuvu, era muteekeeko ensalo okulwetooloola.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'agamba Mukama nti Abantu tebayinza kulinnya ku lusozi Sinaayi: kubanga watulagira, ng'oyogera nti Teeka ensalo okwetooloola olusozi, era olutukuze.