Exodus 19:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'amugamba nti: “Serengeta, ate oyambuke okomewo, oleeta ne Aroni. Naye tokkiriza kabona oba abantu okuwaguza okujja eri Omukama, sikulwa ng'abamalirako obusungu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’alagira Musa nti, “Serengeta oleete Alooni; naye bakabona n’abantu tobaganya kuwaguza kujja kwambuka eri Mukama, kubanga ayinza okubasaanyaawo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'amugamba nti, “Genda, oserengete; naawe olirinnya wamu ne Alooni; naye bakabona n'abantu baleme okuwaguza okulinnya eri Mukama, aleme okubabonereza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'amugamba nti: “Serengeta, okomewo wamu ne Arooni. Naye bakabona n'abantu tebabuuka ensalo okujja gye ndi, nneme okubabonereza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'amugamba nti Genda, oserengete; naawe olirinnya, ggwe ne Alooni wamu naawe; naye bakabona n'abantu baleme okuwaguza okulinnya eri Mukama, aleme okugwa ku bo.