Exodus 19:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Musa n'ayambuka eri Katonda, Omukama n'amuyita ng'ayima mu lusozi n'agamba nti: “Bino bigambe ennyumba ya Yakobo, buulira Abayisirayeli,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’ayambuka eri Katonda; Mukama n’amuyita ng’asinziira ku lusozi ng’agamba nti, “Bino by’onoogamba ennyumba ya Yakobo, by’onootegeeza abaana ba Isirayiri nti, bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'alinnya eri Katonda, Mukama n'amuyita ng'ayima ku lusozi, ng'ayogera nti, “Bw'otyo bw'olibagamba ennyumba ya Yakobo, n'obabuulira abaana ba Isiraeri
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'ayambuka ku lusozi eri Katonda. Mukama n'ayita Musa ng'asinziira ku lusozi, n'agamba nti: “Abayisirayeli bazzukulu ba Yakobo bagambe nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'alinnya eri Katonda, Mukama n'amuyita ng'ayima ku lusozi, ng'ayogera nti Bw'otyo bw'olibagamba ennyumba ya Yakobo, n'obabuulira abaana ba Isiraeri