Exodus 19:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nti: ‘Mmwe mwennyini mulabye bye nakola Abamisiri ne bwe nabasitulira ku biwaawaatiro by'empungu ne mbaleeta we ndi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
‘Mwalaba bye nakola Abamisiri, mmwe ne mbasitulira ku biwaawaatiro by’empungu n’embeereetera gye ndi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nti, ‘Mwalaba bye nnakola Abamisiri, era bwe nnabasitulira mmwe ku biwaawaatiro by'empungu, era bwe nnabaleeta gye ndi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Mwalaba bye nakola Abamisiri, era nga bwe nabasitula mmwe ng'empungu bw'esitula abaana baayo ku biwawaatiro byayo, ne mbaleeta we ndi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nti Mwalaba bye nnakola Abamisiri, era bwe nnasitula mmwe n'ebiwaawaatiro by'empungu era bwe nnabaleeta gye ndi.