Exodus 19:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno bwe munaawuliriza eddoboozi lyange, ne mukuuma endagaano yange, mmwe mu mawanga gonna munaabanga kkula lyange, newandibadde ng'ensi yonna yange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale, singa mugondera eddoboozi lyange awatali kwerekeramu, ne mukuuma endagaano yange, mulibeera eggwanga lyange ery’enjawulo egganzi mu mawanga gonna, kubanga ensi yonna yange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, kaakano, bwe munaawuliranga ddala eddoboozi, lyange ne mukwata endagaano yange, bwe mutyo mmwe munaabanga ekintu kyange ekiganzi mu mawanga gonna; kubanga ensi yonna yange,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano, bwe munaawuliranga bye mbagamba, ne mutuukiriza endagaano yange, munaabanga bantu bange be nsinga okwagala mu bantu bonna, kubanga ensi yonna yange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, kaakano, bwe munaawuliranga eddoboozi lyange ddala, ne mukwata endagaano yange, bwe mutyo munaabanga ekintu kyange ekiganzi mmwe mu mawanga gonna kubanga ensi yonna yange: