Exodus 19:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'agenda n'atumya abakulu b'abantu n'abanjulira ebyo byonna Omukama bye yali amulagidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’akomawo, n’ayita abakulembeze b’abantu n’abategeeza ebigambo ebyo byonna Mukama bye yamulagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'ajja n'ayita abakadde b'abantu, n'ateeka mu maaso gaabwe ebigambo bino byonna Mukama bye yamulagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Musa n'agenda n'ayita abakulembeze b'abantu, n'abategeeza ebyo byonna, Mukama bye yamulagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'ajja n'ayita abakadde ab'abantu, n'ateeka mu maaso gaabwe ebigambo bino byonna Mukama bye yamulagira.