Exodus 19:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bonna ne baddiramu wamu nti: “Byonna Omukama by'agambye tunaabitusanga.” Musa n'azzaayo eri Omukama abantu bye baali baanukudde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bonna ne baddiramu wamu nti, “Ebyo byonna Mukama by’agambye, tujja kubikola.” Musa n’ategeeza Mukama ng’abantu bwe baayogera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bonna ne baddamu awamu ne boogera nti, “Byonna Mukama bye yayogera tulibikola.” Musa n'aleeta nate ebigambo by'abantu eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna ne baddiramu wamu nti: “Byonna Mukama by'agambye tunaabikolanga.” Musa n'azzaayo eri Mukama ebyo abantu bye bagambye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bonna ne baddamu awamu ne boogera nti Byonna bye yayogera Mukama tulibikola. Musa n'aleeta nate ebigambo by'abantu eri Mukama.