Exodus 19:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Musa nti: “Nzija kujja gy'oli mu kire ekikwafu, abantu balyoke bawulire nga bwe njogera naawe basobole okukukkiriza bulijjo.” Ne Musa n'azzaayo eri Omukama abantu bye bagambye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’agamba Musa nti, “Nzija kujja gy’oli mu kire ekikutte, abantu bawulire nga njogera naawe, bakukkirizenga era bakwesigenga ennaku zonna.” Musa n’ategeeza Mukama abantu bye baayogera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Laba, njija gy'oli mu kire ekikutte, abantu bawulire bwe njogera naawe, era bakukkirize ennaku zonna.” Musa n'abuulira Mukama ebigambo eby'abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Musa nti: “Nja kujja gy'oli mu kire ekikwafu, abantu bawulire bwe njogera naawe, balyoke bakukkirizenga bulijjo.” Musa n'abuulira Mukama ebyo abantu bye bagambye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'amugamba Musa nti Laba, njija gy'oli mu kire ekizimbye, abantu bawulire bwe njogera naawe, era bakukkirize ennaku zonna. Musa n'abuulira Mukama ebigambo eby'abantu.