Exodus 2:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwana bwe yakula, n'amuleeta eri muwala wa Faraawo; ye n'amuyisa nga mutabani we; n'amutuuma Musa, ng'agamba nti: “Kubanga namuggya mu mazzi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwana bwe yakula, n’amutwalira muwala wa Falaawo, n’afuuka omwana wa muwala wa Falaawo. N’amutuuma erinnya Musa, n’agamba nti, “Kubanga namuggya mu mazzi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omwana bwe yakula, n'amuleetera muwala wa Falaawo, n'amufuula omwana we, n'amutuuma erinnya Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwana bwe yakula, n'amuleetera muwala wa kabaka. Muwala wa kabaka n'amufuula mutabani we, n'amutuuma erinnya Musa, ng'agamba nti: “Kubanga namuggya mu mazzi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana n'akula, n'amuleetera muwala wa Falaawo, n'afuuka omwana we. N'amutuuma erinnya lye Musa, n'ayogera nti Kubanga namuggya mu mazzi.