Exodus 2:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwali olwo Musa ng'akuze, n'agenda awaali abantu b'eggwanga lye, n'alaba bwe bali ku mirimu gyabwe egy'okwetikka emigugu, era n'alaba Omumisiri ng'akuba Omwebureeyi, omu ku b'eggwanga lye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olwatuuka, Musa ng’amaze okukula, n’agendako mu bantu be Abaebbulaniya, n’alaba emirimu emikakanyavu gye baali bakozesebwa. N’alaba Omumisiri ng’akuba Omwebbulaniya, omuntu ow’omu baganda be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lwali lumu, Musa ng'amaze okukula, n'agenda eri baganda be Abaebbulaniya; n'alaba okutuntuzibwa kwabwe. N'alaba Omumisiri ng'akuba Omwebbulaniya, ow'omu baganda be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwali lumu, Musa ng'amaze okukula, n'agenda okukyalira baganda be Abeebureeyi, n'alaba nga bwe batuntuzibwa. N'alaba n'Omumisiri ng'akuba Omwebureeyi, omu ku b'eggwanga lya Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka mu nnaku ziri, ng'amaze okukula Musa, n'abajjira baganda be n'alaba emigugu gyabwe: n'alaba omuntu Omumisiri ng'akuba omuntu Omwebbulaniya, ow'omu baganda be.