Exodus 2:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enkeera, n'addayo. Waaliwo Abeebureeyi babiri nga balwana. N'agamba omusobya nti: “Lwaki okuba munno?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yaddayo enkeera, n’alaba abasajja babiri Abaebbulaniya nga balwana. N’abuuza oyo eyali asobezza nti, “Lwaki okuba Mwebbulaniya munno?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku lunaku olwokubiri n'addayo, n'alaba abasajja babiri Abaebbulaniya nga balwana, n'agamba oyo eyakola obubi nti, “Kiki ekikukubizza munno?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwaddirira, n'addayo n'alaba abasajja Abeebureeyi babiri nga balwanagana, n'agamba oyo omusobya nti: “Kiki ekikukubizza munno?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku lunaku olw'okubiri n'avaayo, laba, abasajja babiri ab'omu Baebbulaniya ne balwana: n'amugamba oli eyakola obubi nti Kiki ekikubizza munno.