Exodus 2:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oli n'agamba nti: “ Ani yakussaawo ng'omukulu era omulamuzi waffe? Oyagala kunzita nga bwe watta Omumisiri?” Musa ne yeekanga, n'agamba munda ye nti: “Mazima ekigambo kimanyiddwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja n’amuddamu nti, “Ani eyakulonda okuba omufuzi waffe era omulamuzi waffe? Oyagala kunzita nga bwe watta Omumisiri?” Musa n’atya, n’ayogera mu mutima gwe nti, “Ekintu kye nakola kirabika kyategeerebwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja n'amuddamu nti, “Ani eyakufuula omukulu era omulamuzi waffe? Oyagala kunzita nga bwe wasse Omumisiri?” Musa n'atya n'agamba mu mutima gwe nti, “Mazima abantu baategedde kye nnakoze.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja n'addamu nti: “Ani yakufuula omukulu era omulamuzi waffe? Oyagala kunzita nga bwe wasse Omumisiri?” Musa n'atya, n'agamba mu mutima gwe nti: “Abantu baategedde kye nakoze!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Ani eyakuwa obukulu n'okutulamula ffe? Oyagala kunzita nze nga bwe watta Omumisiri? Musa n'atya n'ayogera nti Mazima ekigambo kino kimanyise.