Exodus 2:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Faraawo bwe yakiwulira, n'ayagala okutta Musa. Musa kwe kudduka Faraawo, n'alaga mu nsi y'e Midiyaani, n'atuula wansi, kumpi n'oluzzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Falaawo bwe yakiwulira, n’agezaako okutta Musa. Naye Musa n’aviira Falaawo, n’addukira mu nsi ya Midiyaani; n’atuula awali oluzzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Falaawo bwe yawulira ekigambo ekyo, n'ayagala okutta Musa. Naye Musa n'adduka Falaawo, n'abeera mu nsi ya Midiyaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka bwe yawulira ebibaddewo, n'ayagala okutta Musa. Naye Musa n'adduka kabaka, n'agenda n'abeera mu nsi ya Midiyaani. Lwali lumu, Musa bwe yali ng'atudde okumpi n'oluzzi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Falaawo bwe yawulira ekigambo ekyo, n'ayagala okumutta Musa. Naye Musa n'adduka mu maaso ga Falaawo, n'atuula mu nsi ya Midiyaani: n'atuula wansi okumpi n'oluzzi.