Exodus 2:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waaliwo kabona w'e Midiyaani ng'alina bawala be musanvu, ne bajja okusena amazzi, okujjuza ebyesero banywese endiga za kitaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo kabona mu Midiyaani eyalina abaana be abawala musanvu, ne bajja okusena amazzi bajjuze ebyesero banywese endiga za kitaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo lwali lumu, Musa bwe yali ng'atudde okumpi n'oluzzi, abawala musanvu (7) aba kabona w'e Midiyaani ne bajja okusena amazzi, ne bajjuza ebyesero okunywesa endiga n'embuzi za kitaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
abawala musanvu aba kabona w'e Midiyaani, ne bajja ne basena amazzi, ne bajjuza ebyesero okunywesa endiga n'embuzi za kitaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kabona ow'e Midiyaani yalina abawala musanvu: ne bajja ne basena amazzi, ne bajjuza ebyesero ne bazinywesa endiga za kitaabwe.