Exodus 2:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'azaala omwana wa bulenzi. Musa n'amutuuma Gerusomu, ng'agamba nti: “Ndi musenze mu nsi engwira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zipola n’amuzaalira omwana owoobulenzi. Musa n’amutuuma erinnya Gerusomu, ng’agamba nti, “Kubanga ndi mugwira mu nsi etali yange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zipola n'azaala omwana ow'obulenzi, Musa n'amutuuma erinnya Gerusomu; kubanga yagamba nti, “Nali mugenyi mu nsi etali yange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zippora n'azaala omwana ow'obulenzi, Musa n'amutuuma erinnya Gerusoomu, kubanga yagamba nti: “Mbadde mugwira mu nsi eteri yange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Gerusomu: kubanga yagamba nti Nali mugenyi mu nsi etali yange.