Exodus 2:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga wayise ebbanga ggwanvu, Kabaka w'e Misiri n'afa. Abayisirayeli ne basindira mu buddu, ne batema emiranga. Okuwanjaga kwabwe ne kutuuka eri Katonda nga kuva mu luwonvu olw'obuddu bwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo nga wayiseewo ebbanga ggwanvu, kabaka w’e Misiri n’afa. Abaana ba Isirayiri ne basindanga era ne bakaabanga olw’obuddu bwe baalimu, n’okukaaba kwabwe ne kutuuka eri Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga wayiseewo emyaka mingi, kabaka w'e Misiri n'afa, naye abaana ba Isiraeri ne basigala nga basinda olw'obuddu bwabwe, ne bakaaba, n'okukaaba kwabwe ne kutuuka eri Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga wayiseewo emyaka, kabaka w'e Misiri n'afa. Naye Abayisirayeli ne basigala nga bakyasinda olw'obuddu bwabwe. Ne bakaaba, era okukaaba kwabwe ne kutuuka eri Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ennaku ziri bwe zaayitawo ennyingi, kabaka w'e Misiri n'afa: abaana ba Isiraeri ne basinda ku lw'obuddu bwabwe, ne bakaaba, n'okukaaba kwabwe ne kulinnya eri Katonda ku lw'obuddu bwabwe.