Exodus 2:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yali takyasobola kwongera kumukweka, n'amufunira ekibbo eky'ebitoogo, n'akisiiga envumbo n'amasanda, n'assa omwana mu kibbo ekyo, n'akiteeka mu biwuuwa ku lubalama lwa Kiyira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe yatuusa ekiseera nga takyasobola kumukweka, n’amufunira ekibaya eky’ebitoogo, n’akisiigako ebitosi ne koolaasi; omwana n’amuteeka omwo, n’akissa mu bitoogo ku lubalama lw’omugga Kiyira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bw'ataayinza kwongera kumukweka, n'aleeta ekibaya eky'ebitoogo n'akisiiga ettosi n'envumbo; omwana n'amuteeka munda, n'akiteeka mu kitoogo ku lubalama lw'omugga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yalaba takyayinza kwongera kumukweka, n'aleeta ekibaya eky'ebitoogo, n'akisiiga ettosi n'envumbo, n'ateekamu omwana, n'akiteeka mu kitoogo, ku lubalama lw'omugga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bw'ataayinza kwongera kumukweka, n'amukolera ekibaya eky’ebitoogo, n'akisiiga ebitosi n’envumbo; omwana n'amuteeka munda; n'akiteeka mu kitoogo ku lubalama lw'omugga.