Exodus 2:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo muwala wa Faraawo n'aserengeta okunaaba mu Kiyira, abawala abamulabirira nga bwe batambulatambula ku lubalama lwa Kiyira. N'alaba ekibbo mu biwuuwa, n'atuma omu ku bazaana be akireete.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo muwala wa Falaawo n’aserengeta ku mugga Kiyira okunaaba; abaweereza be abawala ne batambulira ku lubalama lw’omugga; muwala wa Falaawo n’alaba ekibaya mu bitoogo, n’atuma omu ku bawala okukikima, n’akireeta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo muwala wa Falaawo n'aserengeta ku mugga okunaaba; abazaana be ne batambula ku lubalama lw'omugga; ye n'alaba ekibaya mu kitoogo, n'atuma omuzaana we okukireeta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo muwala wa kabaka n'aserengeta ku mugga okunaaba. Abazaana be ne batambula ku lubalama lw'omugga. N'alaba ekibaya mu kitoogo, n'atuma omuzaana we okukireeta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muwala wa Falaawo n’aserengeta okunaaba ku mugga; abazaana be ne batambula ku lubalama lw’omugga; n'alaba ekibaya mu kitoogo, n'atuma omuzaana we okukireeta.