Exodus 2:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo mwannyina w'omwana n'agamba muwala wa Faraawo nti: “Ŋŋende nkuzuulire omu mu bakazi Abeebureeyi akuyonseze omwana?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mwannyina w’omwana n’asembera, n’agamba muwala wa Falaawo nti, “Ŋŋende nkuyitire omulezi w’abaana Omwebbulaniya ajje akumulerere?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mwannyina w'omwana n'agamba muwala wa Falaawo nti, “Ŋŋende nkuyitire omulezi mu bakazi Abaebbulaniya akuyonseze omwana oyo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwannyina w'omwana n'agamba muwala wa kabaka nti: “Ŋŋende nkuyitire omukazi Omwebureeyi akuyonseze omwana oyo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mwannyina n'amugamba omuwala wa Falaawo nti ŋŋende nkuyitire omulezi mu bakazi Abaebbulaniya akuyonseze omwana?