Exodus 2:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muwala wa Faraawo n'amuddamu nti: “Kale genda.” Omwana n'agenda n'ayita nnyina yennyini ow'omwana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muwala wa Falaawo n’amuddamu nti, “Kale, genda.” Omuwala mwannyina w’omwana oyo bwe yagenda, yaleeta nnyina wa mwana!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muwala wa Falaawo n'amugamba nti, “Kale genda.” Omuwala n'agenda n'amuyitira nnyina w'omwana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muwala wa kabaka n'amugamba nti: “Kale genda.” Omuwala n'agenda n'ayita nnyina w'omwana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muwala wa Falaawo n'amugamba nti Kale. Omuwala n'agenda n'amuyita nnyina w'omwana.