Exodus 2:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muwala wa Faraawo n'amugamba nti: “Twala omwana ono, omunnyonseze, ndikusasula.” Omukazi n'atwala omwana n'amuyonsa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muwala wa Falaawo n’agamba nnyina w’omwana nti, “Twala omwana ono omunderere, nnaakusasulanga.” Omukazi oyo n’atwala omwana n’amulera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muwala wa Falaawo n'amugamba nti, “Twala omwana ono omunnyonseze, nange ndikuwa empeera yo.” Omukazi n'atwala omwana, n'amuyonsa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muwala wa kabaka n'agamba omukazi nti: “Twala omwana ono omunnyonseze, ndikuwa empeera.” Omukazi n'atwala omwana, n'amuyonsa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muwala wa Falaawo n'amugamba nti Twala omwana ono omunnyonseze, nange ndikuwa empeera yo. Omukazi n'atwala omwana, n'amuyonsa.