Exodus 20:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye olunaku olwomusanvu ye Sabbaato ku lw'Omukama Katonda wo. Tokolanga mulimu ku olwo, ggwe, newandibadde nga mutabani wo, newandibadde muwala wo, newandibadde abaddu bo abasajja n'abakazi, newandibadde ebisolo byo, newandibadde omusenze ali naawe mu kibuga kyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda wo. Ku lunaku olwo tokolerangako mulimu gwonna; ggwe, wadde mutabani wo, wadde muwala wo, wadde omuweereza wo omusajja, oba omuweereza wo omukazi, wadde ensolo zo, wadde omugenyi ali omumwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye olunaku olw'omusanvu ye Ssabbiiti eri Mukama Katonda wo; olunaku olwo tolukolerangako mirimu gyonna gyonna; ggwe kennyini, newakubadde omwana wo omulenzi, newakubadde muwala wo, newakubadde omudduwo, newakubadde omuzaana wo, newakubadde ebisolo byo, newakubadde munnaggwanga ali omumwo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye olunaku olw'omusanvu ye Sabbaato, luweereddwayo nga lwange, Nze Mukama, Katonda wo. Ku lunaku olwo, tokolerangako mulimu na gumu, ggwe n'abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'abaddu bo n'abazaana bo, n'ebisolo byo, wadde abagwira abali omumwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye olunaku olw'omusanvu ye ssabbiiti eri Mukama Katonda wo: olunaku olwo tolukolerangamu mirimu gyonna gyonna; so naawe wekka, newakubadde omwana wo omulenzi, newakubadde muwala wo, newakubadde omuddu wo, newakubadde omuzaana wo, newakubadde ebisolo byo, newakubadde munnaggwanga ali omumwo: