Exodus 20:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama yakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ebyo byonna ebizirimu mu nnaku mukaaga, naye ku lunaku olwomusanvu n'awummula; Omukama kyeyava awa olunaku lwa Sabbaato omukisa n'alufuula lutukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga mu nnaku omukaaga Mukama Katonda mwe yakolera eggulu n’ensi, n’ennyanja, ne byonna ebibirimu, n’awummulira ku lunaku olw’omusanvu. Mukama kyeyava awa omukisa olunaku olwa Ssabbiiti n’alutukuza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga mu nnaku omukaaga Mukama mwe yakolera eggulu n'ensi, ennyanja, n'ebintu byonna ebirimu, n'awummulira ku lunaku olw'omusanvu; Mukama kyeyava aluwa omukisa olunaku olwa Ssabbiiti, n'alutukuza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga mu nnaku omukaaga, Nze Mukama mwe nakolera eggulu n'ensi n'ennyanja, n'ebintu byonna ebirimu, ne mpummulira ku lunaku olw'omusanvu. Nze Mukama kyennava mpa omukisa olunaku olwo olwa Sabbaato, ne ndutukuza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga mu nnaku omukaaga Mukama mwe yakolera eggulu n'ensi, ennyanja, n'ebintu byonna ebirimu, n'awummulira ku lunaku olw'omusanvu: Mukama kyeyava aluwa omukisa olunaku olwa ssabbiiti, n'alutukuza.