Exodus 20:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Teweegombanga nnyumba ya munno. Teweegombanga mukazi wa munno, oba omuddu we omusajja oba omukazi, oba ente ye, oba endogoyi ye, na buli kikye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Teweegombanga nnyumba ya muliraanwa wo. Teweegombanga mukazi wa muliraanwa wo, newaakubadde omuweereza we omusajja, newaakubadde omuweereza we omukazi, wadde ente ye, oba endogoyi ye, oba ekintu kyonna ekya muntu munno.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Teweegombanga nnyumba ya muntu munno, teweegombanga mukazi wa muntu munno, newakubadde omuddu we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye, newakubadde endogoyi ye, newakubadde buli kintu ekya muntu munno.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Teweegombanga nnyumba ya muntu mulala, teweegombanga mukazi we, newaakubadde omuddu we, oba omuzaana we, oba ente ye, oba endogoyi ye, wadde ekintu kye ekirala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Teweegombanga ennyumba ya muntu munno, teweegombanga mukazi wa muntu munno, newakubadde omuddu we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye, newakubadde endogoyi ye, newakubadde buli kintu ekya muntu munno.