Exodus 20:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bonna ne balaba okubwatuka, ebimyanso, eddoboozi ly'eŋŋombe, n'olusozi nga luttunka erikka, ne batya ne bakankana ensisi, ne bayimirira wala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu bwe baalaba okumyansa kw’eraddu, ne bawulira n’okubwatuka kw’eggulu awamu n’eddoboozi ly’akagombe, ne balaba n’olusozi nga lunyooka ne bakankana nga batidde nnyo. Ne bayimirira walako,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bonna ne balaba okubwatuka, n'enjota, n'eddoboozi ly'eŋŋombe, n'olusozi nga lunyooka omukka, abantu bwe baalaba ne bakankana, ne bayimirira wala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna bwe baawulira okubwatuka kw'eggulu n'eddoboozi ery'eŋŋombe, era bwe baalaba okumyansa, n'olusozi nga lunyooka omukka, ne bakankana, ne bayimirira wala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bonna ne balaba okubwatuka, n'enjota, n'eddoboozi ly'eŋŋombe, n'olusozi nga lunyooka omukka: abantu bwe baalaba ne bakankana, ne bayimirira wala.