Exodus 20:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Musa nti: “Bw'oti bw'oba ogamba Abayisirayeli nti: ‘Mulabye bwe njogedde nammwe nga nnyima mu ggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’agamba Musa nti, “Bw’oti bw’oba otegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Mmwe bennyini mwerabiddeko nga njogera nammwe nga nsinziira mu ggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Bw'otyo bw'ogamba abaana ba Isiraeri nti, ‘Mmwe mulabye nga nnyimye mu ggulu okwogera nammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Musa nti: “Gamba Abayisirayeli nti: ‘Mulabye bwe nsinzidde mu ggulu ne njogera nammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Bw'otyo bw'ogamba abaana ba Isiraeri nti Mmwe mulabye nga nnyimye mu ggulu okwogera nammwe.