Exodus 20:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe munkolera omwaliiro ogw'amayinja temuguzimbyanga mayinja mabajje, kubanga bwe mugussaako ekyuma nga mugukola, mugwonoona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe munzimbiranga ekyoto eky’amayinja, temukizimbisanga mayinja mayooyoote, kubanga ekyuma bwe kirigakoonako kirigafuula agatasaanira kyoto kyange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bw'olinkolera ekyoto eky'amayinja, tokizimbyanga mayinja agatemebwa; kubanga bw'olikiyimusaako ekyuma kyo, ng'olwo tekikyasaanira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe munkoleranga alutaari ey'amayinja, temugizimbisanga mayinja gatemeddwa, kubanga ebyuma bye mukozesa okugatema, bigafuula agatasaanira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bw'olinkolera ekyoto eky'amayinja, tokizimbyanga mayinja agatemebwa: kubanga bw'olikiyimusaako ekyuma kyo, ng'okireetedde obugwagwa.