Exodus 20:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Teweekoleranga kifaananyi kyole oba enfaanana ey'ekintu kyonna ekiri mu ggulu waggulu, oba ekiri ku nsi wansi, oba mu mazzi ku ntobo y'ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Teweekoleranga kintu kyonna ekyole ekifaanana n’ekintu kyonna ekiri waggulu mu ggulu, oba wansi ku nsi, oba ekiri mu mazzi agali wansi w’ensi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Teweekoleranga ekifaananyi ekyole, newakubadde ekifaananyi eky'ekintu kyonna kyonna, ekiri waggulu mu ggulu, newakubadde ekiri wansi ku ttaka, newakubadde ekiri mu mazzi agali wansi w'ettaka;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Teweekoleranga kifaananyi kya kintu na kimu eky'omu ggulu, oba eky'oku nsi, oba eky'omu mazzi agali wansi w'ettaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Teweekoleranga ekifaananyi ekyole, newakubadde ekifaananyi eky'ekintu kyonna kyonna, ekiri waggulu mu ggulu, newakubadde ekiri wansi ku ttaka, newakubadde ekiri mu mazzi agali wansi w'ettaka: