Exodus 20:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Tobivunnamiranga era tobiweerezanga. Kubanga nze Mukama Katonda wo, ndi Katonda ow'obuggya; mbonereza omusango gw'abazadde mu baana n'abazzukulu okutuusa ku zzadde eryokusatu n'eryokuna ery'abo abankyawa;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tobivuunamiranga so tobisinzanga. Kubanga, nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya; mbonereza abaana olw’ebibi bya bakitaabwe n’ebya bajjajjaabwe okutuusa ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna ogw’abo abankyawa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
tobivuunamiranga ebyo, so tobiweerezanga; kubanga nze Mukama Katonda wo, ndi Katonda wa buggya, abiwalana ku baana ebibi bya bajjajjaabwe okutuusa ku mirembe egy'oku bannakasatwe ne ku bannakana, egy'abantu abankyawa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Toovuunamirenga bifaananyi ebyo, era toobisinzenga, kubanga Nze Mukama Katonda wo, sivuganyizibwa. Mbonereza abaana n'abazzukulu bannakasatwe ne bannakana, olw'ebibi bya bajjajjaabwe abankyawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
tobivuunamiranga ebyo, so tobiweerezanga: kubanga nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya, abiwalana ku baana ebibi bya bajjajja baabwe okutuusa ku mirembe egy'oku bannakasatwe ne ku bannakana, egy'abantu abankyawa;