Exodus 20:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Tokozesanga linnya lya Mukama Katonda wo mu bitaliimu, kubanga Omukama talibala oyo akozesezza erinnya lye mu bitaliimu ng'atalina musango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tokozesanga linnya lya Mukama Katonda wo ng’olayira ebitaliimu nsa; kubanga Mukama talirema kumusalira musango ne gumusinga omuntu oyo alayirira obwereere erinnya lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Tolayiriranga bwereere erinnya lya Mukama Katonda wo; kubanga mu maaso ga Mukama omusango gulimusinga omuntu alayirira obwereere erinnya lye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Tomalanga gakozesa linnya lyange, kubanga Nze Mukama, Katonda wo, ndibonereza buli muntu amala gakozesa erinnya lyange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tolayiriranga bwereere erinnya lya Mukama Katonda wo: kubanga mu maaso ga Mukama omusango gulimusinga omuntu alayirira obwereere erinnya lye.