Exodus 21:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa amulyazaamanya mu bino ebisatu, omukazi ayinza okugenda mu ddembe, awatali kusasula ssente n'emu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebintu ebyo ebisatu singa abimumma, omuwala omuddu anaayinzanga okuleka mukama we n’amuvaako awatali kusasulirwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bw'atamukoleranga ebyo byonsatule, aligenda bwereere, awatali kusabayo bintu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'ataamuwenga ebyo byonsatule, anaalekanga omukazi oyo okugenda abe wa ddembe, awatali kusabayo bintu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bw'atamukoleranga ebyo byonsatule, aligenda bwereere, awatali bintu.