Exodus 21:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba tagenderedde, naye Katonda nga y'amuleka n'afiira mu mikono gye, nzija kubassizaawo ekifo gy'ayinza okuddukira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka singa akikola nga tagenderedde, naye Katonda n’akikkiriza okubaawo, anaddukanga ne yeekweka mu kifo kye ndibateekerateekera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyokka anattanga omuntu nga tagenderedde, ndikuteerawo ekifo gy'ayinza okuddukira n'atakolebwako kabi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka anattanga omuntu nga tagenderedde, ndikuteerawo ekifo gy'ayinza okuddukira n'atakolebwako kabi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omuntu bw'atateeganga, naye Katonda n'amuteeka mu mukono gwe; oyo ndikulagirira ekifo ky'aliddukiramu.