Exodus 21:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abantu bwe bayombanga, omu n'akuba munne ejjinja oba ekikonde, omuntu oyo n'atafa naye ne kimutuusa ku ndiri,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abantu singa bayomba ne balwana, omu n’akuba munne ejjinja oba ekikonde, n’atafa wabula n’abeera ku kitanda;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era abantu bwe balwananga, omuntu omu n'akuba munne ejjinja oba kikonde, n'atafa naye n'amala agalamizibwa ku kitanda;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abantu bwe banalwanagananga, omu n'akuba munne ejjinja oba ekikonde, akubiddwa n'atafa, naye n'alwazibwa ku kitanda,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abantu bwe balwananga, omuntu omu n'akuba munne ejjinja oba kikonde, n'atafa naye n'amala agalamizibwa ku kitanda: