Exodus 21:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
eyakuba taavunaanibwenga, kasita oli asituka n'asobola okutambulatambulako ng'asimba akaggo. Kyokka ateekwa okumugatta, olw'okumulobera okukola, era wa kumulabirira okutuusa lw'awonera ddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
singa ava ku kitanda, n’atandika n’okutambulako ebweru n’omuggo gwe, oli eyamukuba taavunaanibwenga; wabula anaasasuliranga ebiseera by’oyo gwe yakuba, era n’amujjanjaba okutuusa ng’awonedde ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bw'agolokokanga n'avaayo n'asenvulira ku muggo, eyamukuba nga tazzizza musango; naye amugattanga olw'ebiseera bye yamwonoonera, era amujjanjabanga okutuusa lw'aliwona.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
bw'asitukanga n'asenvulira ku muggo, eyamukuba taabonerezebwenga, wabula anaamugattanga olw'ebiseera, bye yamufiiriza, n'amujjanjaba okutuusa lw'awonera ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bw'agolokokanga n'avaayo n'asenvulira ku muggo, eyamukuba nga tazzizza musango: naye amugattanga olw'ebiseera bye bye yamwonoonera, era alimuwonyeza ddala.