Exodus 21:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bw'ogula omuddu Omwebureeyi, anaaweererezanga emyaka mukaaga. Mu mwaka ogwomusanvu wa kuteebwanga, awatali kusasula kwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ogulanga omuddu Omwebbulaniya, akuweererezanga emyaka mukaaga. Mu mwaka ogw’omusanvu omuddizanga eddembe lye n’agenda, era talisasuliranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ogulanga omuddu Omwebbulaniya, aweererezanga emyaka mukaaga; awo mu mwaka ogw'omusanvu anaaweebwanga eddembe lye n'agenda, nga tewali ky'asasudde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'ogula omuddu Omwebureeyi, anaakuweerezanga okumala emyaka mukaaga. Mu mwaka ogw'omusanvu anaaweebwanga eddembe lye n'agenda, nga tewali ky'asasudde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ogulanga omuddu Omwebbulaniya, aweererezanga emyaka mukaaga: awo ogw'omusanvu aligenda n'eddembe bwereere.