Exodus 21:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abantu bwe balwananga, bamala bakuba omukazi ali olubuto ne luvaamu, newandibadde nga tafunye buvune, omuntu akikoze ateekwa okusasula engassi nnyini mukazi gy'amusalidde; agiwangayo okusinziira ku nsala y'abalamuzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Singa abantu babadde balwana, ne bakubiramu omukazi ali olubuto, olubuto ne luvaamu, kyokka n’atabaako mutawaana mulala gwonna, oyo amukubye anaatanzibwanga omutango bba w’omukazi gw’anaasalanga, era nga n’abalamuzi bagukkirizza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era abantu bwe balwanalwananga, ne bakola obubi omukazi alina olubuto, ne luvaamu, naye ne watabaawo kabi kalala; talemanga kuliwa, nga bba w'omukazi bw'alimusalira; aliriwa ng'abalamuzi bwe balagiranga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abantu bwe banaalwanagananga, ne balumya omukazi ali olubuto, olubuto ne luvaamu, naye omukazi n'atatuukibwako kabi kalala, amulumizza anaaliyisibwanga byonna bba w'omukazi by'anaamusaliranga, ne bikakasibwa abalamuzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abantu bwe balwanalwananga, ne bakola obubi omukazi alina olubuto; olubuto ne luvaamu, naye akabi konna ne katabaawo: talemanga kuliwa, nga bba w'omukazi bw'alimusalira; aliriwa ng'abalamuzi bwe balagiranga.