Exodus 21:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye singa afuna obuvune obusingawo, olwo munaawangayo obulamu olw'obulamu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye singa omukazi oyo abaako omutawaana ogw’amaanyi, ekibonerezo kineenkanaakananga n’ekyo ky’amukoze. Bw’anattanga anattibwanga,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe wabangawo akabi akalala, owangayo obulamu olw'obulamu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye omukazi oyo bw'anaatuukibwangako akabi, olwo ekibonerezo kinaabeeranga kya kuliwa bulamu ku bulamu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye akabi bwe kabangawo, owangayo obulamu olw'obulamu,