Exodus 21:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omuntu bw'akuba eriiso ly'omuddu we oba ery'omuzaana we, n'alyonoona, ateekeddwa okumutanga, agatte bw'atyo eriiso lye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuntu bw’akubanga omuddu we omusajja oba omuddu we omukazi, n’amuggyamu eriiso, anaamuddizanga eddembe lye n’amuleka n’agenda, nga kwe kumuliyira olw’eriiso eryo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era omuntu bw'akubanga eriiso ly'omuddu we, oba eriiso ly'omuzaana we n'aliziba; amuwanga eddembe olw'eriiso lye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuntu bw'akubanga omuddu we, oba omuzaana we mu liiso ne lifa, amulekanga n'agenda nga wa ddembe olw'okuliyirira eriiso lye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omuntu bw'akubanga eriiso ly'omuddu we, oba eriiso ly'omuzaana we n'aliziba; amuwanga eddembe olw'eriiso lye.