Exodus 21:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye oba ente yali ntomezi mu kusooka, ate nga ne nnyiniyo yalabulibwa kyokka n'atagikuuma, olwo ente eyo bw'ettanga omusajja oba omukazi, yo eneekubwanga amayinja, ne nnyiniyo anattibwanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye seddume eyo singa emanyiddwa nga bulijjo ntomezi, era nga ne nannyini yo yalabulwako dda, kyokka n’atagisibira mu lugo lwayo, n’etta omusajja oba omukazi, eneekubwanga amayinja n’efa, ne nannyini yo anattibwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ente nga ntomezi, nnannyiniyo n'abuulirwa so n'atagisiba, naye bw'ettanga omusajja oba mukazi; ente ekubibwanga amayinja, era ne nnannyiniyo attibwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ente bw'eba nga yamanyiira okutomeranga abantu, nnannyiniyo n'alabulwa, kyokka n'atagisiba, olwo bw'eneetomeranga omusajja oba omukazi n'emutta, ente eneekubibwanga amayinja n'ettibwa, era ne nnannyiniyo anattibwanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ente nga yamanyiira okutomeza amayembe edda, nannyiniyo n'abuulirwa so n'atagisiba, naye bw'ettanga amusajja oba mukazi; ente ekubibwanga amayinja, era ne nannyiniyo attibwanga.