Exodus 21:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba nga bamusalidde omutango, asasulanga buli kyonna ekimusaliddwa, alyoke anunule obulamu bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye singa asalirwa engassi, aneenunulanga n’awona okufa ng’asasuddeyo kyonna ekinaabanga kimusaliddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe bamusaliranga olufuubanja, awangayo ebintu bye bamusalidde byonna okununula obulamu bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nnannyiniyo bwe banaamusaliranga omutango okununula obulamu bwe, anaawangayo byonna bye bamusalidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe bamusaliranga olufuubanja, awangayo ebintu bye bamusalidde byonna okununula obulamu bwe.